Okuwulira omusango gw’abantu, abagambibwa okwenyigira mu kutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi teguwuliddwa n’olunnaku olwaleero.

Mu kkooti enkulu mu Kampala, munnamateeka w’abantu abaakwattibwa Anthony Wameli agambye nti tebannaba kufuna lukusa, olubakkiriza okuyingira mu kkomera e Luzira okusisinkana abasibe aba 2 abali ku limanda.

Kaweesi yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa nga 17, Ogwokusatu, 2017 e Kulambiro mu disitulikiti y’e Kampala okumpi n’amakaage.

Abantu 8 bebali ku misango gy’obutemu nga 2 okuli Abdu Rashid Mbaziira ne Aramathan Higenyi bali ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okukusa abaana.

Ate abantu 6 omuli Bruhan Balyejusa, Shafiq Kasujja, Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa, omulamuzi yakkirizza okusaba kwabwe ne beeyimirirwa.

Munnamateeka Wameli, asabye omulamuzi Duncan Gaswagga, okumuwa ebbaluwa, emukirizza okuyingira e Luzira, abasibe okuteeka emikono ku kiwandiiko nga bakkirizza okwewozaako nga basinzira e Luzira mu nkola ya Video Conferencing.

Mungeri y’emu abasibe, baagala okugibwako emisango olw’okutulugunyizibwa nga bakwattiddwa.

Wameli agamba nti balinze ekiwandiiko okuva eri omuwandiisi wa kkooti Beatrice Antingu, ekibakkiriza okuyingira e Luzira.

Eddoboozi lya Wameli