Omubaka we Nakaseke eyamaserengetta Semakula Luttamaguzi ne banne 22 basindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, olw’okugyemera amateeka mu kulwanyisa Covid-19.

Luttamaguzi yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, ku kyalo Wakasanke ku luguudo oluva e Matugga okudda e Semuto, bwe yabadde agenda mu tawuni Kanso ye Semuto okuba olukungaana.

Abamu ku bantu abaakwattiddwa mu Tawuni Kanso y’e Semuto nga balinze Luttamaguzi mwe muli Violet Nakalema eyeegwanyiza eky’omubaka omukyala owe Nakaseke.

Luttamaguzi, Nakalema n’abalala 21, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakaseke Milly Nankya era baguddwako emisango 3 omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, okwefuula ekitagasa mu bantu n’okukuba olukungaana mu ngeri emenya amateeka.

Bonna begaanye ebisango, era munnamateeka waabwe Richard Lumu kwekusaba omulamuzi abantu be okweyimirirwa, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Angelo Wasswa Bengo kye lukkirizza.

Wabula omulamuzi abadde akyekeneenya abantu abaleeteddwa okweyimirira Luttamaguzi ne banne, waliwo omusirikale John Bamwenda atuuse mu kkooti ng’ava ku Poliisi e Kiwoko kwe kusaba omulamuzi obutayimbula bantu abo.

Omusirikale Bamwenda, agambye nti waliwo omusirikale eyattiddwa mu ddukadduka eyabaddewo, emmotoka ya Poliisi yakubiddwa nga n’embeera mu Tawuni Kanso ye Semuto ekyali ya bunkenke ku nsonga y’ebyokwerinda.

Wadde Omusirikale Bamwenda wadde agaanye okwatuukiriza amaanya g’omusirikale eyattiddwa, omulamuzi asigadde asobeddwa kwekusindika Luttamaguzi ku Limanda ne banne okutuusa nga 3, omwezi ogujja Ogwomwenda.