Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago alabudde gavumenti obutetantala kuzza Bannayuganda mu muggalo omulundi ogw’okubiri.

Lukwago agamba nti okuzza abantu ku muggalo kigenda kutataanya eby’enfuna by’eggwanga n’embeera z’abantu mu ggwanga lyonna n’okusingira ddala mu kibuga Kampala.

Mu kiseera kino bannakibuga beeraliikirivu olw’ebigambibwa nti gavumenti eyolekedde okuzaayo abantu ku muggalo oluvanyuma lw’omuwendo gw’abantu abakwatibwa obulwadde bwa Covid-19 okweyongera.

Wabula Minisita Omubeezi ow’ebyobulamu Hon Robina Nabbanja agamba nti singa abantu tebassa mu nkola mateeka gatangira Covid-19, embeera ne yeeyongera okusajjuka mu ggwanga, abantu balina okuddayo ku muggalo.