Uganda eyingidde abantu 28 abaakafa Covid-19 ssaako n’okuzuula abantu abeyongedde okulwala.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, Uganda ezuddeyo abantu 2 abalala abafudde Covid-19.

Mw’abo abakebeddwa olunnaku olw’eggulo, Minisitule yazudde abantu 155 abalwadde ate abaafudde kuliko omusajja nga mutuuze mu disitulikiti y’e Mbale n’omusajja omulala mu disitulikiti y’e Kapchorwa nga bonna basukka emyaka 55.

Ate abasawo 9 bazuuliddwa nga balwadde mu Kampala, Wakiso ssaako ne Jinja.

5 baddereeva abali ku ddimu ly’okutambuza ebyamaguzi ku nsalo ez’enjawulo, abasigadde bagiddwa mu bantu.

Mu kiseera kino, Uganda yakafuna abalwadde 2,679, abasiibuddwa 1,268, abali mu ddwaaliro 1,411 ate yakafiisa 28.