Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde bannayuganda essuubi ku nsonga massomero, amasinzizo ne bbaala zonna mu ggwanga.

Pulezidenti Museveni yaggala ebintu ebisinga obungi mu ggwanga nga 20, March, 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana.

Mu kiseera kino, Uganda erina abalwadde ba Covid-19 2,847, nga yakafiisa abantu 29 ate abawonye bali 1,288.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ng’asinzira mu State House entebe ku mikolo gy’okusabira eggwanga olwa Covid-19, yagambye nti agenda kusisinkana akakiiko akali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19 mu ggwanga ku lunnaku Olwokubiri nga 1, September, 2020, okusalawo ku nsonga ya massomero, amasinzizo ne bbaala.

Pulezidenti Museveni agamba nti wadde Covid-19 yeyongedde mu Kampala, abantu balina okuddamu empisa mu kwetangira okulwala kuba yengeri yokka eyinza okuyamba okubakkiriza okudda ku mirimu wakati mu kulwanyisa obulwadde.

Ebiriwo, biraga nti amasinzizo gayinza okuggulwawo, amassomero okulangirira nti omwaka gw’ebyenjigiriza ogwa 2020 gufudde ate ebbaala, ziyinza okusigala nga nzigale kuba Pulezidenti Museveni agamba nti tewali ngeri yonna abantu gye bayinza kwambala masiki mu bbaala wadde okwewa amabanga.