Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kijabwemi mu ggoombolola y’e Kimanya Kyabukuza mu kibuga kye Masaka, omwana eyabuze akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, bw’asangiddwa nga yattiddwa.

Omwana Faith Kyamagero myaka 3, azuuliddwa nga yatemeddwako omutwe era ekiwuduwudu kisangiddwa mu nsiko.

Taata w’omwana Charles Ssenyonga agamba nti muwala we yatwaliddwa abadde omuyambi w’awaka Joseph Nuwashaba era mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Okusinzira ku Aaron Naturinda, akulira okunoonyereza ku misango mu disitulikiti y’e Masaka, okunoonya omutemu kutandikiddewo era agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu, ate omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okwekebejjebwa.

Nuwashaba Joseph
Nuwashaba Joseph

Kigambibwa omusajja Nuwashaba Joseph myaka 23 nga mutuuze we Bushenyi akwattiddwa emisana ga leero ng’atwalibwa sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga omutwe gw’omwana, yaguggye Masaka era Kyamagero ayinza okuba ye mwana eyattiddwa.

Nuwashaba mukwattibwa, agambye nti abadde akedde kutwalira sipiika ekirabo wabula olukwattiddwa, atwaliddwa ku kitebe kya CID e Kibuli.