Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, wakusunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga okuddamu okwesimbawo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2021 nga 2, omwezi ogwa November, 2020.

Okusinzira ku kiwandiiko ekisindikiddwa mu kakiiko k’ebyokulonda nga kiteekeddwako omukono gwa Ssabawandiisi w’ekibiina Justine Lumumba, nga 15, omwezi guno Ogwomwenda, basabye akakiiko Museveni okusunsulwamu ku lunnaku olwo nga 2, November, 2020 ku ssaawa 4 ez’okumakya.

Mukulu Museveni eyakaweza emyaka 76, akulembedde Uganda okuva mu 1986 wabula banna NRM bazzeemu okumukwasa bendera, okulembera ekibiina ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.

Mu kulonda kwa 2021, Muzeeyi Museveni singa asunsulwamu, wakuvuganya n’abantu ab’enjawulo abegwanyiza entebe omuli Pulezidenti wekibiina ki NUP era omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine, Munnamawulire ate nga Pasita Joseph Kabuleta, Maj-Gen Mugisha Muntu, Lt Gen Henry Tumukunde; Charles Rwomushana n’abalala.