Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Jose Chameleone akangudde ku ddoboozi oluvanyuma lw’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okumumma kaadi, okuvuganya ku bwa Loodi Meeya mu kulonda kwa 2021.

Chameleone agamba nti kiswaza abakulembeze omuli Ssalongo Erias Lukwago, Latif Ssebagala n’abalala okugamba nti Yoweri Museveni agende kyokka bo tebagenda.

Mungeri y’emu agamba nti yalonda Ssebagala okuva ng’alina emyaka 19 kyokka kati musajja mukulu alina emyaka 41 era tasobola kuddamu kumulonda era amusalawa nnyo.

Ebyavudde mu NUP
Ebyavudde mu NUP

Chameleone alabudde Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwesonyiwa abasajja abakadde abalemedde mu byobufuzi kuba ye tagenda kubawa mukisa gwonna era yabakoowa dda.

Agamba nti kiswaza aba NUP okugaana okumuwa kaadi ku lwa Ssebagala.

Eddobooozi lya Chameleone