Poliisi e Jinja ekutte munnakibiina kya NUP, ku misango gy’okwenyigira mu kulya enguzi eri abo abegwanyiza obukulembeze nga betaaga okusunsulwamu, okufuna kaadi y’ekibiina.

Saul Nsongambi akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Jinja yakwattiddwa ku biragiro bya Alex Waiswa omu ku bakulu, abakwasaganya eby’okulonda mu kibiina kya NUP, oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya.

Nsongambi atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Jinja ku misango gy’okulya enguzi.

Bamu ku bannakibiina abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagambye nti okufuna kaadi y’ekibiina ku bukulembeze bwonna okwesimbawo, musajja mukulu akwattiddwa, abadde yegumbulidde okubagyamu ensimbi, ekisiiga ekibiina kyabwe enziro.

Wabula Waiswa oluvanyuma lw’okulagira Nsongambi okutwalibwa ku Poliisi, agambye nti balina okulwanyisa abantu bonna, abali mu kibiina, abalina ekigendererwa eky’okusanyawo enkola ya Demokulasiya.

Ku lwa Poliisi, Abbey Ngako omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo.