Kyaddaki bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) balambuludde ku ngeri gye bayinza okuddamu okufuna omuntu omulala okukwata kaadi y’ekibiina ku bwa Loodi Meeya.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Latif Ssebagala omubaka we Kawempe North yavudde mu lwokaana ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala era agamba nti yakikoze okutangira ab’oludda oluvuganya okwetemamu mu kulonda kwa 2021 n’okulemesa NRM okuwangula Kampala ku bwa Loodi Meeya.

Ssebagala okwasibwa kaadi ku bwa Loodi meeya, yawangudde Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone ssaako ne Hajji Nasser Ntege Ssebagala.

Wabula omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agamba nti wadde waliwo bannakibiina abagamba nti kaadi balina okugiwa Chameleone kuba yakutte kyakubiri mu kusunsulwamu, balina okweyambisa amateeka ku buli nsonga yonna.

Ssenyonyi agamba nti bafunye okuwabulwa okuva mu bannamateeka b’ekibiina, okuddamu entekateeka yonna ey’okunoonya omuntu ayinza okukwata kaadi y’ekibiina ku bwa Loodi Meeya era tebayinza kugiwa Chameleone lwa kuba Ssebagala yavudde mu lwokaano.

Eddoboozi lya Ssenyonyi