Bya Zainab Ali

Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu y’omu ku bannabyabufuzi abakungubagidde eyaliko meeya w’ekibuga Kampala Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala afudde enkya ya leero.

Seeya Ssebagala afiiridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo, Kampala ku myaka 72 era essaawa yonna, Famire egenda kufulumya entekateeka z’okuziika.

Bobi Wine mu kwogerako eri Bannamawulire
Bobi Wine mu kwogerako eri Bannamawulire

Bobi Wine n’abakulembeze abalala omuli eyaliko omubaka omukyala owa Kampala Margret Nantongo Zziwa, eyali omwogezi wa Democratic Party Kenneth Paul Kakande, eyaliko omubaka we Makindye East Michael Mabikke, eyaliko omubaka wa Kampala Kampala Central Capt Francis Edward n’abalala bakedde ku ddwaaliro lya IHK oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kwa Seeya Ssebagala.

Mu kwogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okusisinkana aba famire y’omugenzi, Bobi Wine agambye nti, “kitalo nnyo ekya muzeeyi waffe, tufiiriddwa memba ow’amaanyi nga aba NUP, nga bannakampala tufiiriddwa mukadde waffe Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala ne ggwanga lyonna, bingi nnyo byetumuyigiddeko ate abadde mukwano gwange nnyo“.

Abasiramu bagenda kusaalira Ssebagala ekiro kya leero ku ssaawa 2 ku muzikiti gwe Kansanga.

Eddoboozi lya Bobi Wine