Eyali meeya wa Kampala Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’omutima okusirika emirundi 2.
Ssebagala afiiridde mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (HIK) e Namuwongo, Kampala.
Omu ku baganda b’omugenzi, agambye nti abasawo bakoze kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Ssebagala naye Omutonzi bwatyo bw’ageze.
Mungeri y’emu agambye nti oluvanyuma lwa Ssebagala okugwa mu kinaabiro ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa September, abadde afunye enjawulo era nga balina esuubi okudda awaka essaawa yonna kyokka ku ntandiika ya sabiti eno embeera yazzeemu okubiggya.

Ssebagala yalongoosebwa oluvanyuma lw’ekyenda okwesiba. Okuva lwe yatwalibwa mu ddwaaliro, abadde mu kasenge akajjanjabirwamu abalwadde abayi era nga tewali akkirizibwa kumulaba okuggyako mutabani we omu yekka Abdul Nasser Gamel Sebaggala.

Famire egamba nti bakoze kyonna mu ddwaaliro, abasawo bakoze kyonna ekisoboka, ssente bataddemu mpitirivu okutaasa obulamu naye Ssebagala okufa, kye bayita amaanyi ga Allah era Omutonzi amusonyiwe ebyo ebyamusobako.

Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala kati omugenzi, yaliko munnakibiina kya Democratic Party (DP), omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ate yabadde yagasse ku kisinde kya People Power okuvuganya Ssalongo Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya.