Nga bannansi bali mu kwetekerateekera okulonda kwa 2021, nate tukuletedde abakyala 2 abagamba nti bavuddeyo okuggya sipiika Rebecca Kadaga mu Palamenti ku ky’omubaka omukyala owe Kamuli.

Kadaga mukyala munnamateeka era abadde mu Palamenti ng’omubaka omukyala owe Kamuli emyaka 23 era mu kulonda kwa 2021 yakomyewo.

Mu kamyufu ka National Resistance Movement (NRM), yawangudde omukyala Deborah Mwesigwa Mugerwa, okuddamu okukwata kaadi ya NRM ku ky’omubaka omukyala owe Kamuli.

Sipiika Kadaga, Musumba ne Mwesigwa Mugerwa
Sipiika Kadaga, Musumba ne Mwesigwa Mugerwa

Kadaga okudda mu Palamenti n’okufuna omukisa okuddamu okulya obwa sipiika bwa Palamenti, alina okuwangula abakyala 2 mu kulonda kwa 2021 omuli Salaamu Musumba owa Forum for Democratic Change (FDC) ne Deborah Mwesigwa Mugerwa.

Mugerwa agamba nti wadde yawanguddwa mu kamyufu ka NRM, alina okudda nga Yindipendenti kuba Kadaga tagwanidde kudda mu Palamenti, alemeddwa okuyamba abakyala be Kamuli.

Ate Salaamu agamba nti abakyala b’e Kamuli okufuna obuweereza mu kitundu kyabwe, ye ssaawa okuggya Kadaga mu Palamenti.