Famire y’omugenzi Seeya Nasser Ntege Sebaggala efulumizza entekateeka z’okuziika mu kiro ekikeseza olwaleero.

Sebaggala yafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku ddwaaliro lya IHK e Namuwongo oluvanyuma lw’omutima okwesiba.

Wabula okusinzira ku muganda w’omugenzi omuto Haj. Muhammad Ssebaggala, Nasser Ntege Sebaggala wakuziikibwa ku Ssande nga 4, October, 2020 okusobozesa abaana be abali ebweru w’eggwanga okuziika ku kitaabwe.

Haj. Muhammad Ssebaggala
Haj. Muhammad Ssebaggala

Haj. Muhammad agamba nti Sebaggala alese ekiraamo ekikakali ekiraga nti abaana be bonna balina okwetaba mu kuziika kwe era y’emu ku nsonga lwaki wakuziikibwa ku Ssande nga 4, October, 2020.

Mungeri y’emu agambye nti Seeya alina abaana 14 mu ggwanga erya America era balina okubalinda.

Aba famire era bagamba nti okuva olunnaku olwaleero, bataddewo okusabira omwoyo gw’omugenzi e Kikulu, Kisaasi ku nju ya famire okuva ku ssaawa 10 okutuusa 12 ez’akawungeezi ate ku lunnaku Olwokuna ne ku Lwokutaano, Omugenzi wakutwalibwako mu makaage e Munyonyoa ate ku Lwokutaano, omulambo gwakutwalibwa ku kitebe kya Kampala Capital City Authority (KCCA) mu Kampala ekya City Hall.

Eddoboozi lya Haj. Muhammad 

Wabula abamu ku bayisiraamu abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe bagambye nti mu ddiini, Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala abadde musajja w’amaanyi era abadde alina okutambulira ku bulombolombo bw’eddiini, omusiraamu yenna balina okumuziikirawo wadde abadde Pulezidenti.

Bagambye nti okuziikibwa ku Ssande, kikoleddwa kutambulira ku bya nsi, ekintu ekikyamu era kiwebuula eddiini.