Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku muliro ogwasanyawo Ivory Tower, ekimu ku kizimbe ekibadde ekikadde ku yunivasite y’e Makerere.

Ekizimbe kyakwata omuliro nga 20 omwezi guno Ogwomwenda ku ssaawa nga 6 ez’ekiro era Poliisi okuva olwo, eri mu kunoonyereza ku kyavaako omuliro.

Kati no, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omuliro, kwatandikira mu offiisi ekola ku nsonga y’amawulire ku Yunivasite e Makerere.

Enanga era agambye nti waliwo abakozi abagiddwako sitetimenti ku nsonga y’omuliro era kigenda kubayamba nnyo mu kunoonyereza kwabwe.

Fred Enanga
Fred Enanga

Ezimu ku offiisi ezakwaata omuliro ku mwaliro ogusooka waggulu mwe muli ekola ku by’ensimbi, okubala ebitabo n’endala era Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza.

Mungeri y’emu Poliisi erina abantu 3 abali mu kunoonyezebwa ku misango gy’omuliro ku Yunivasite e Makerere, abakyekwese.

Enanga agamba nti kuliko abakozi 2 abaludde nga balongoosa Yunivasite omuli okusimuula ssaako n’omusirikale omu, eyali ku ddimu ly’okukuuma Yunivasite.

Eddoboozi lya Enanga