Omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta kyaddaki aguddewo ebbaala, ekiwadde bannansi essanyu.

Kenyatta mungeri y’emu akkirizza Resitolanti okuddamu okutunda omwenge nga kikoleddwa okusatulula ku muggalo gwa Covid-19.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, agambye nti Covid-19 ayongedde okendeera mu East Africa, nga bannansi balina okuddamu okutambuza emirimu n’okubadiza eddembe lyabwe.

Mungeri y’emu Kafyu amuleseewo okumala ennaku 60 kyokka ayongezaayo essaawa okuva ku ssaawa 3 okudda ku 5 ez’ekiro.

Uhuru Kenyatta
Uhuru Kenyatta

Abalina emikolo omuli n’okuziika, akkirizza abantu 200 ate amasinzizo 1 kya 3 okusinzira ku muwendo ekkanisa oba Ekereziya gwetuuza.

Wadde ebbaala zigguddwawo, ziragiddwa okuggalawo ku ssaawa 4 ez’ekiro, abadigize okudda awaka mu ssaawa 1, ku ssaawa 5 kafyu atandiike.

Kenyatta yaggala ebbaala mu gwokusatu 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana era werutuukidde olunnaku olwaleero, nga balina abalwadde 38,168, yakafiisa abantu 700 ate 24,681 basiibuddwa okuva malwaliro ate abantu 44 bali mu mbeera mbi, malwaliro.