Poliisi yeenyodde ne bannakibiina Kya FDC abakedde okuwerekera Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago bw’abadde azzeeyo okwewandiisa, okudamu okuvuganya ku bwa Loodi meeya bwa Kampala omulundi Ogwokusatu.

Embeera nga bannakibiina kya FDC beyongedde obungi, Poliisi egadde ezimu ku nguudo, okutangira abantu okuyingira ku kitebe, ky’akakiiko  Entinda, okwewala embeera eyinza okusajjuka ssaako n’akavuyo okweyongera.

Webuzibidde nga abegwanyiza obwa loodi Meeya Basatu (3) bebasunsudwa okuli Munnakibiina kya NUP era omubaka omukyala owa Kampala Nabillah Nagayi Ssempala, Elias Lukwago owa FDC ne Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone nga aze kubwanamunigina.

Lukwago ne banne

Mu kwogerako eri bannamawulire, Mayanja agambye nti agambye nti azze mu Kampala okusakira BannaKampala buli muntu okweyagala n’okutumbula enkolagana n’abakulembeze endala mu nsi endala.

Mayanja