Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyikiddwa nga jjajja Ragga Dee kyaddaki asunsuddwa, okuddamu okwesimbawo ku bwa Loodi meeya bwa Kampala omulundi gwe Ogwokubiri.

Ragga Dee nga yakutte Kaadi ya NRM, yavuganya ku bwa Loodi meeya bwa Kampala omulundi ogwasooka mu 2016.

Mu kulonda okubindabinda ogwa 2021, Ragga Dee ye muyimbi ow’okubiri asunsuddwa ku bwa Loodi Meeya oluvanyuma lwa Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone okusunsulwa olunnaku olw’eggulo.

Jjajja Ragga Dee agamba nti okuyamba abantu n’okutegeera embeera zaabwe y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okuddamu okwesimbawo, okwongera okuyamba abantu ng’atudde mu ntebe y’omuloodi.

Eddoboozi lya Ragga Dee

Mungeri y’emu agambye nti, abayimbi okuvaayo okwesimbawo, bakikoze okuwereza abantu, okuyamba bangi ku bannansi abali mu mbeera y’okusomoozebwa nga tebalina kyakulya, tebalina wakusula, ate nga abakulembeze bali mu kwebuzabuza.

Jjajja Ragga Dee wakutunka n’abantu ab’enjawulo omuli Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago eyakutte kaadi ya FDC, munna NUP Naggayi Nabillah Ssempala.

Abalala kuliko Innocent Kawooya, Ben Lule Ssentamu ne Ssalongo Isaac Ssendagire abasunsuddwa emisana ga leero.

Lule agamba nti Lukwago asukkiridde okaabira mu ntebe ng’alemeddwa okutambuza emirimu era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okulongoosa ekibuga.