Abasibe 22 basindikiddwa okola bulungi bwansi okumala essaawa 100 nga basingisiddwa emisango egy’enjawulo.

Mu kkooti, abasibe basingisiddwa emisango omuli okwenyigira mu kulwanagana awaka, okutisatiisa okutuusa obulabe ku bantu, okubba, okwonoona ebintu, okulumya abantu n’obulagajjavu, ekyali kiyinza okutambuza Covid-19.

Abamu, baludde ku limanda okuva mu Janwali era enkya ya leero, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti asookerwako e Isingiro Hillary Murangira.

Omulamuzi agambye nti abbanga lye bakulungudde ku limanda, basobodde okuyiga n’okwenenya, kwe kubasindika okukola bulungi bwansi okumala essaawa 100.

Buli musibe, alagiddwa okola bulungi bwansi okumala essaawa 6, ennaku 3 buli wiiki, okumala emyezi 2.

Buli omu afunye ebbaluwa, okujanjula eri abakulembeze ku maggombolola, okusalawo bulungi bwansi bwe balina okwenyigiramu okumala emyezi 2.

Abasibe abayimbuddwa kuliko Enock Tumwine, Benson Byamukama, Hassan Byonabusha, Sharif Musinguzi, Siraji Mugizi, Ivan Muhwezi, Alex Muhereza, Emmanuel Tumwine, Alex Mukama ne Abel Owarugaba.

Abalala mwe muli Yasin Mukama, Joseph Bakunda, Fred Turyasingura, Allan Wasswa, Christopher Nyesiga, John Tiriri, Amos Muhangi, Venesia Twinamatsiko, Bashiri Turyamusiima, Emmanuel Taremwa, Innocent Arinda, Grant Muzahura, Benon Mwisukye ne Silili Twinomujuni.