Ebitongole byokwerinda omuli Poliisi n’amaggye bikutte omusajja Emmanuel Ngobi nga mutuuze ku kyalo Ntege mu kibuga kye Jinja ku misango gy’okwefuula omusirikale munnamaggye ali ku ddaala lya Captain.
Ngobi nga mu kiseera kino ali ku kitebe ky’amaggye ekya Gadaffi, akwattiddwa ng’ali mu kyambalo ky’amaggye nga yefudde omusirikale wa CMI.
Abadde yeegumbulidde okuggyako abantu ensimbi mu disitulikiti y’e Mukono ne Jinja ng’abasuubiza okubatwala ng’abakozi mu kitongole ekikola ku by’emmere mu nsi yonna ekya world food program.
Olukwattiddwa, akkirizza okwenyigira mu kuggyako abantu ensimbi era agambye nti abadde akikola, okunoonya ensimbi okwebezaawo nga bwanoonya omulimu.
Wabula Edwin Mawanda, omwogezi w’amaggye mu kitundu ekyo, agambye nti Ngobi aguddwako emisango egy’enjawulo omuli okusangibwa n’ekyambalo ky’amaggye, okwefuula kyatali era okunoonyereza kutandikiddewo.