Abantu 2 bafiiridde mu bbaala wakati mu kulwanagana mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi oluvanyuma lw’ennaku 2 ng’omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta aguddewo ebbaala.

Okusinzira ku muwandiisi wa Minisitule y’ebyobulamu Rashid Aman, Poliisi etandiise okunoonyereza era avumiridde eky’okulwanagana, kwe kusaba bannanyini bbaala okutekawo embeera, okutangira abantu okudda mu kwesika amataayi n’okwetangira okutambuza obulwadde.

Ebbaala, zalagiddwa okutambuza emirimu okutuusa ku ssaawa 4 ez’ekiro, abantu okudda awaka mu ssaawa emu, katyu ayingirewo ku ssaawa 5.

Okuva ku lunnaku Olwokubiri, ebbaala zijjula ne zibooga ekiwaliriza bannanyini bbaala okulinyisa emiwendo gye mwenge kyokka bo abadigize beyongera bungi.

Kenya yakafuna abalwadde ba Covid-19 38,529, yakafiisa abantu 711 wabula Gavumenti esobeddwa olw’omujjuzo mu bbaala.