Esannyu libuutikidde bannakibiina kya Democratic Party (DP) mu kusunsula omuntu waabwe agenda okulemberamu ekibiina, ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2021.

Munnakatemba eyali yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino Charles James Ssenkubuge amanyikiddwa nga Siasa asunsuddwa okulemberamu DP.

Sabiti wedde, omukyala Beatrice Kayanja eyabadde akwasiddwa kaadi ya DP, yagobeddwa ab’akakiiko k’ebyokulonda, olw’okusangibwa nga tali ku ligesita y’abalonzi.

Kati no DP, Kaadi egikwasizza munnakatemba Ssenkubuge era asunsuddwa wakati mu ssanyu ssaako n’okulangirira nti Kampala bagenda kugyetikka.

Ssenkubuge agambye nti ebbanga ly’amaze mu Kampala, ategeera bulungi nnyo ensonga ezinyigiriza Bannakampala era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okwesimbawo.

Eddoboozi lya Ssenkubuge

Ate omwogezi wa DP Okolero Opio agambye nti Ssenkubuge ye muntu omutuufu, okuzza Kampala ku mutindo.

Charles James Ssenkubuge awerekeddwako munnakatemba munne Aloysius Matovu Joy bw’abadde agenda okusunsulwamu.

Matovu Joy agamba nti Ssenkubuge ebbanga ly’amaze mu katemba abadde muzannyi mulungi era Kampala efunye omuntu omutuufu.

Okusunsulamu abegwanyiza obukulembeze mu Gavumenti ezibitundu kufundikiddwa akawungeezi ka leero era mu Kampala abegwanyiza obwa Loodi Meeya kuliko Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago eyakutte kaadi ya FDC, munna NUP Naggayi Nabillah Ssempala, Munna NRM Daniel Kazibwe amanyikiddwa nga jjajja Ragga Dee , Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr, Jose Chameleone.

Abalala kuliko Innocent Kawooya, Ben Lule Ssentamu, Ssalongo Isaac Ssendagire ssaako ne munnakatemba Charles James Ssenkubuge asunsuddwa emisana ga leero.