Okulwanyisa enjawukana mu kibiina, y’emu ku nsonga lwaki Ambasadda Wasswa Biriggwa asuddewo tawulo ku ssaawa envanyuma nawanduka mu lwokaano mu kunoonya anakwata kaada y’ekibiina kya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Biriggwa oluvuddemu, Pulezidenti w’ekibiina Eng. Patrick Oboi Amuriat, ayiseemu nga takubiddwako kalulu era olw’essanyu, ayunguse amaziga olukutte akazindalo.
Biriggwa agamba nti enjawukana ezaali mu kibiina mu 2015 ezavaako n’eyali Pulezidenti w’ekibiina Mugisha Muntu okuva mu FDC, abadde alina okuzitangira okuddamu.

Wasswa One

Ate Eng. Patrick Amuriat agenda okulemberamu FDC ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga agamba nti ku mulundi guno, balina okulwanyisa embeera yonna, eyinza okwenyigira mu kubba akalulu.
Amuriat agamba nti okwegatta nga bannakibiina, nakyo balina okukisembeza ku mwanjo.
Amuriat One