Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kayongezaayo okusunsulamu abantu bonna abegwanyiza okwesimbawo, okukiika mu Palamenti y’eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Okusunsula kubadde kwa sabiti ejja ku Mmande nga 12 ne ku Lwokubiri nga 13, omwezi guno Ogwekkumi, wabula akakiiko k’ebyokulonda kayongezaayo ennaku.

Okwongezaayo, kutuukiddwako mu State House Entebe wakati wa ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze bw’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ssaako ne ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi omutendeke Simon Byabakama wakati mu kwetekateeka okusabira eggwanga.

Sipiika Kadaga mu kwogerako eri abetabye mu kusabira eggwanga, agambye nti okusunsulamu kwongezeddwayo okutuusa nga 15 ku Lwokuna ne 16 ku Lwokutaano, omwezi guno Ogwomunaana, 2020 nga kikoleddwa, abegwanyiza okwesimbawo okutuukiriza ebisanyizo omuli okuddamu okutereeza amannya gaabwe.

Agamba, bangi ku begwanyiza okwesimbawo okukiika mu Palanenti n’okusingira ddala abakyala, bakyusa amaanya gaabwe Ndaga Muntu ne betuuma aga basajja baabwe oluvanyuma lw’okufumbira, ekintu ekitakkirizibwa mu kakiiko k’ebyokulonda.

Kadaga One

Okuva sabiti ewedde, ensonga eyo ebadde mu Palamenti nga basaba akakiiko k’ebyokulonda, okwongezaayo okusunsula nga bangi ku bagenda okwesimbawo, emitima gyongera kubeewanika.

Wabula Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ensimbi David Bahati agambye nti ekituukiddwako, kyongedde okubawa essanyu.

Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Byabakama, asuubiza okuvaayo, okwongera okutegeeza eggwanga ku nkyukakyuka ezikoleddwa.