Omusajja eyagiddwako emisango mu ggwanga erya Kenya egyekuusa ku butujju awambiddwa, ekyongedde okutiisa famire ssaako ne bannansi.

Liban Abdullahi Omar yabadde ku misango egyekuusa ku butujju obwakolebwa ku ssemadduka ‘Westgate’ mu kibuga Nairobi mu 2013.

Abantu babuligyo 63 battibwa, abasirikale 4 nga n’abatujju 5 battibwa era mu kkooti enkulu mu kibuga Nairobi, omulamuzi Francis Andayi yasingisiza abasajja 2 emisango egyekuusa ku butujju ate Omar yajjerezeddwa nga balina okumuyimbula.

Wabula oluyimbuddwa mu kkomera lye Kamiti, abadde alina okuddayo mu kibuga Nairobi, ku kitebe kya Poliisi ekirwanyisa obutujju, okufuna ebbaluwa eraga nti agiddwako emisango.

Ng’ali mu kkubo ne famire ye mu takisi, abasajja nga bakutte emmundu, bayimiriza emmotoka ne bategeeza nti basirikale era amangu ddala Omar ateekeddwa mu bbuutu y’emmotoka ne bamutwala.

Aba famire, bagamba nti wadde Poliisi basobodde okugitegezaako wabula omuntu waabwe tamanyikiddwako gyatwaliddwa.

Ate abasajja 2 abasingisiddwa emisango egyekuusa ku butujju, omulamuzi yalangiridde nga 22 omwezi guno Ogwekkumi, okubawa ekibonerezo.