Poliisi mu Kampala ekutte abantu 22 abasangiddwa nga bali ku kabaga k’okuvuganya mu kusinda omukwano.
Akabaga kabadde mu nnyumba y’obwanannyini e Kireka mu Monicipaali y’e Kira.
Poliisi egamba nti akabaga kubaddeko abasajja eb’enjawulo n’abawala era wakati ng’okuvuganya mu kusinda omukwano kutandiise, Poliisi weyatuukidde ku ssaawa nga 6 ez’ekiro.


Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Kira ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19 n’okumenya amateeka ne bakungaana.
Owoyesigyire agamba nti abakwate olunnaku olw’enkya ku Mmande bakutwalibwa mu kkooti.