Poliisi y’e Kitgum ekutte omukyala ku misango gy’okutta omu ku baana be abalongo abalenzi myezi 8 olw’obutakaanya ne bba.

Lily Oyella nga mutuuze ku kyalo Bipong mu ggoombolola y’e Labongo Amida yakutte abalongo n’abasuula mu mwala gwa Auch, Mita 500 okuva awaka ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Kigambibwa omukyala Oyella yatumye bba Kenneth Ochol okugula emmere kyokka omusajja teyakomyewo nga ssente zonna yazinyweddemu omwenge ku lunnaku Olwokutaano.

Omukyala Oyella yavudde mu mbeera nga talina kyakuliisa baana, kwe kusalawo okusuula abaana mu mwala.

Wilfred Nyeko, ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Labongo Amida agamba nti omu ku baana yafudde ate omwana omulala yataasiddwa abatuuze ng’ali mu mbeera mbi era mu kiseera kino ali mu ddwaaliro ekkulu e Kitgum.

Maama Oyella ali ku kitebe kya Poliisi e Kitgum ku misango gy’okutta omuntu ate omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino era Poliisi emunoonya.