Omuwala myaka 16 ali mu maziga olw’abasajja 4 okumukoseza omulundi gumu (kirindi) kyokka teyafunye wadde 100.

Omuwala amannya gasirikiddwa y’omu ku bantu 21 abaakwatiddwa okuva ku Towers Bar and Lounge e Kireka mu Monicipaali y’e Kira ku kabaga k’empaka z’okusinda omukwano ku Lwomukaaga ekiro.

Ku Poliisi, omuwala agamba nti mukama we Anita Keizi yadduse olw’okutya Poliisi okumukwata kyokka yageenze okudduka nga tamuwadde wadde 100.

Agamba nti yabadde yakasanyusa abasajja 4 okusinda omukwano nga buli musajja wa 10,000 era yabadde alina okufuna emitwalo 40,000 Poliisi weyatuukidde.

Fred Enanga
Fred Enanga

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omukyala Anita Keizi nga mutuuze we Kireka, aliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’okuyingiza abaana abato mu kwetunda n’okubayingiza ebikolwa, ebiyinza okubasiiga obulwadde.

Enanga era agamba nti, omuwala asobodde okubategeeza nti ne muto we ali mu gy’obukulu 14, mukulu waabwe Nabukenya Prossy Nakimera, yamuyingiza ebikolwa eby’kwetunda era kati y’omu ku basinga Bakasitoma, olw’abasajja okusikirizibwa abawala abato.

Enanga One