Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku bantu abaakwattiddwa nga bali mu kabaga k’empaka z’akaboozi e Kireka.

Poliisi yakutte abantu 22 omuli abawala n’abasajja okuva mu maka agamu nga bali mu mpaka za kusinda mukwano.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate olunnaku olwaleero bayinza okubatwala mu kkooti ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19 n’okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Wabula abamu ku batuuze mu bitundu bye Kireka bagamba nti abawala abaakwatiddwa abamu baludde nga benyigira mu bikolwa by’okuzina ekimansulo mu bbaala ez’enjawulo mu kitundu kyabwe ate abalala bamalaaya nga gwe mulimu gwabwe.

Mungeri y’emu bagamba nti wadde Poliisi ku mulundi guno, yasobodde okubakwata, baludde nga benyigira ku kukyaza abasajja ne badda mu mpaka z’akaboozi ekiro kiramba omuli n’okunywa myenge.

Abatuuze era bagamba nti abamu ku basajja abaakwattiddwa, bafumbo kyokka ebisoko bya bawala mu mpaka, y’emu ku nsonga lwaki bazeenyigiramu.

Okusinzira ku bateesiteesi, okuzannya ng’olina kondomu, buli musajja alina okuwa shs 50,000 ate okulya omutwe 100,000 wabula okuyingira ssente 20,000 ne VIP shs 50,000.