Kyaddaki Poliisi ekutte abantu bataano (5) abaalabikidde mu katambi ku mikutu migatta bantu, nga bagamba nti bannakibiina kya NRM nga bambadde obusaati bw’ekibiina era nga bakutte ebimundu ebijingirire ebya AK47.
Abakwate kuliko Thomas Mwiru akulembera akabinja kabwe, Sejja Robert, Sentamu Zubair, Kaluya Robert ne Abdullah Kakoba, era bonna bali ku kitebe kya Poliisi e Iganga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate balina akabinja kaabwe aka ‘Busoga NRM Youth Security Network’ era akatambi, kaakwatibwa nga bali mu kukumba mu kibuga kye Iganga.
Enanga era agamba nti abakwattiddwa, okusangibwa n’emmundu enjigirire kimenya amateeka ng’abantu bayinza okuzeyambisa okutigomya abatuuze era alipoota z’emisango gyabwe gy’asindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti e Iganga okuwabula Poliisi ku kiddako.

Eddoboozi lya Enanga