Poliisi y’e Jinja ekutte abaana 16 ku misango gy’okwenyigira mu kutigomya abatuuze, omuli okubba, okusobya ku bakazi n’okuwamba abantu.

Abakwattiddwa, bagiddwa ku byalo omuli Mafubira, Masese, Mpumudde, Obote Way ne Bugembe nga bali mu gy’obukulu 14 ku 16.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Abbey Ngako, abaana abakwattiddwa baludde nga batigomya abatuuze wakati w’essaawa 1 ey’akawungeezi n’omusanvu (7) ez’ekiro.

Abakwattiddwa
Abakwattiddwa

Abaana balina abakulembeze ab’enjawulo n’obukuundi omuli Team No Sleep, B13, Team Sex Team Spider, era mu kikwekweeto, Poliisi ezudde ebintu eby’enjawulo omuli enjaga, Layini z’amassimu, amassimu, obutayimbwa ssaako n’ebintu ebirala.

Ngako One Final

Mungeri y’emu agambye nti abakwate, baludde nga benyigira mu kuwamba abawala n’abakyala ne basaba ssente oluvanyuma lw’okubasobyako kyokka wadde abamu, basobodde okudduka, okubanoonya kutandikiddewo.

Ngako Two