Justine Nameere, muwala wa Minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja ali mu maziga oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu ka National Resistance Movement (NRM) okuvuganya okukikirira abavubuka mu Buganda mu Palamenti y’eggwanga.

Akulira eby’okulonda abavubuka mu Buganda Jane Alisemera Babiiha, yalangiridde Agnes Kirabo nti yawangudde akalulu oluvanyuma lw’abantu 11 okuvuganya.

Kirabo yafunye obululu 212 (44.4%), Felix Kayihura yakutte kyakubiri n’obululu 98 (20.5%).

Agnes Kirabo ne Justine Nameere
Agnes Kirabo ne Justine Nameere

Mastulah Nakibuule yamalidde mu kyakusatu n’obululu 75 (15.7%), Justine Nameere obululu 35(7.3%), Alvin Semambya 28 (5.9%) ate Joan Nanseko 26(5.4%).

Abalala Mr Abdul Kiberu 3 (0.6%), Rachael Namono yafunye akalulu 1 (0.2%) ate Hakim Mabingo, Fred Mujjuzi ne Victor Sserunkuma bonna bafuye 0.

Mu kiseera kino munnamawulire Faridah Nakazibwe kigambibwa y’omu ku bantu abasanyufu olwa Nameere okuwangulwa kuba tewali nkolagana wakati waabwe.