Bya Nalule Aminah

Kyaddaki ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye byogedde amaziga lwaki bakedde kuzingako ekitebe kya NUP e Kamwokya ssaako n’amadduka agamu mu kibuga Kampala.

Mu kikwekweeto, Poliisi n’amaggye babadde begatiddwako aba LDU era ku kitebe kya NUP, baggyeyo ebintu eby’enjawulo.

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi mu kulumba ekitebe, batutte ebintu omuli obusaati bw’ekibiina, obukoofira, Ambuleera, ebiwandiiko eby’enjawulo era nga bigendereddwamu okunafuya ekibiina ne Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Ssenyonyi one Final

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abantu okweyongera okwambala ebyambalo, ebyefananyirizaako eby’ebitongole ebikuuma ddembe omuli engatto, ovulo, engoye, obukofiira y’emu ku nsonga lwaki Poliisi ekozze ekikwekweeto.

Fred Enanga
Fred Enanga

Enanga agamba nti, balina okulwanyisa abantu bonna abegumbulidde okwambala mu ngeri eyeefananyirizaako ey’ebitongole ebikuuma ddembe.

Mungeri y’emu agambye nti abantu okwambala mu ngeri bwetyo, kiyinza okuwa omukisa abantu abakyamu okwenyigira mu kumenya amateeka olwa bannansi abamu, okulowooza nti abantu abo, basibuka mu kitongole kikuuma ddembe.

Mu Kampala, ekikwekweeto kikoleddwa e Makindye, Kawempe, Mulago, mu Kiyembe, Kamwokya, ku basuubuzi abatunda, abatunga ebyambalo ssaako n’abo abazitambuza.

Ku lw’amaggye, amyuka omwogezi wa UPDF Lt Col Deo Akiiki Asiimwe agamba nti ebikwekweeto, bikyagenda mu maaso ku bantu bonna abegumbulidde okuzannyira ku byambalo byabwe nga ebitongole byokwerinda.