Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku mwana omuwala ali mu gy’obukulu 16, eyakwattibwa ne banne 20 nga bali mu kabaga, k’empaka z’okusinda omukwano e Kireka mu Monicipaali y’e Kiira sabiti ewedde ku Lwomukaaga ekiro.

Okunoonyereza, kulaga nti omwana bamuggya Masaka muganda we omukulu, Nabukenya Prossy, ng’amusuubiza nti mu Kampala yafunye omulimu, alina okunoonya ensimbi okusinga okutuula awaka nga n’amassomero gakyali maggale.

Omuwala, amangu ddala ng’atuuse mu Kampala, muganda we yamulaga omusajja gw’alina okwebaka naye, okunoonya ensimbi okwebezaawo.

Oluvanyuma, yamuguza omukyala Anita Kayz eyamututte ku mpaka z’okusinda omukwano e Kireka, gye bamukwattidde.

Poliisi weyatuukidde, ng’omuwala yakebaka n’abasajja 4 ku 10,000, era omukyala era Anita yadduse amubanja emitwalo 4.

Enkya ya leero, ku bakwate 21 omuli abasajja n’abawala, 13 batwaliddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Kiira.

Mu kkooti, baguddwako emisango 5 omuli okwetunda, okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, okusasaanya obuseegu n’okukusa abaana abato.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi eri mu kunoonya Anita Kayz eyakulemberamu okutekateeka akabaga, omukyala Sharon Amutusimire ne bba bannanyini amaka omwali emikolo gy’okusinda omukwano.

Mungeri y’emu ekitongole ekikesi nga kikulembeddwamu Thomas Kasimo, kizudde ebifo eby’enjawulo omutegekebwa emikolo gy’akaboozi Nakulabye e Lubaga, Nansana e Wakiso era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ku Poliisi, omuwala bwe yabadde awa sitetimenti, waliwo omusirikale omukyala eyakulukusizza amaziga kuba naye muzadde nga yewuunya omuwala omuto, bw’atuuka ku ngeri y’okwetunda.