• 75
    Shares

Omuyimbi munna Kibiina kya NUP Hillary Kiyaga ‘Dr. Hilderman’ asunsuddwa okuvuganya ku ky’omubaka wa Palamenti e Mawokota North mu disitulikiti y’e Mpigi.

Dr. Hilderman agenda kutunka n’abantu ab’enjawulo omuli omuli munnakibiina kya NRM era Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde ssaako ne Joseph Zimulamugwanya eyesimbyewo nga yindipendenti.

Olusunsuddwa, Dr. Hilderman agambye nti ebintu bingi ebisobye ng’abakadde bali mu bukulembeze era kekaseera emiti emito, okwata obuyinza okulongoosa ebisobye.

Minisita Kyambadde mu kyevu
Minisita Kyambadde mu kyevu

Mungeri y’emu agamba nti e Mawokota North ye muntu omutuufu okukola ku nsonga z’abantu omuli okunoonyeza abavubuka emirimu, okutumbula talenti n’okunga abantu okulonda Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Wabula Minisita Kyambadde agambye nti singa addamu okulondebwa, okutumbula ebyenfuna maka, okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okutambuza amasanyalaze ssaako n’amazzi, byagenda okutandikirako.

Eddoboozi lya Minisita Kyambadde


  • 75
    Shares