Abantu babiri (2) basindikiddwa mu kkomera ku misango gy’okusangibwa n’emmundu ssaako n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.

Bano okuli Banuli Lubanga myaka 34 eyali omusirikale mu kitongole ky’amakkomera e Kigo ne David Okello myaka 20 omusirikale mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Rock Security Limited, basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso g’abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Lt Gen Andrew Gutti.

Mu sabiti 2 eziyise, mu kkooti bakkiriza emisango era enkya ya leero buli omu asibiddwa emyaka 4.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 22, Ogwomukaaga, omwaka oguwedde ogwa 2019, Okello ne munne baalumba essundiro ly’amafuta erya Total e Nsambya erya Dr. Col. Kizza Besigye nga bakutte emmundu era kigambibwa baali bagenze kubba ssente ssaako n’amafuta.

Nga 5, Ogwomunaana, 2019 mu kkooti begaana emisango ate nga 5 omwezi guno ogwekkumi, nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Maj Kamanda Mutungi bakkiriza emisango, kkooti kwe kubasibe emyaka 4 enkya ya leero.