Kyaddaki Col. Frank Kaka Bagyenda eyabadde akulira bambega b’ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO agudde mu bintu.

Col. Bagyenda yagobeddwa mu ISO ku ntandiikwa y’omwezi guno ogwa October, 2020 kyokka alondeddwa nga Ambasadda wa Uganda mu ggwanga erya Angola.

Okusinzira ku nsonda ezesigika mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Col. Bagyenda asindikiddwa mu kibuga Luanda oluvanyuma lwa Uganda okuggulawo ekitebe mu ggwanga erya Angola.

Oluvanyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba Col. Bagyenda mu ISO, yamusikizza Lt.Col. Charles Oluka.