Kyaddaki Poliisi y’e Katwe ekutte omusuubuzi w’omu Kampala David Katumwa ku misango gy’omwana omuwala eyabuziddwawo.

Omwana myaka 16 yabula okuva mu maka g’abazadde be e Zzana kati omwezi mulamba oluvanyuma lw’abazadde okumulemerako annyonnyole gye yaggye ssente ze yaguzeemu essimu empya eya ‘Smartphone’.

Maama w’omwana Yasmin Ahmed agamba nti yaddukira ku Poliisi y’e Zzana okuyambibwa ku nsonga z’omwana we eyabuze.

Oluvanyuma, yafuna amawulire nti muwala we yalabiddwako mu maka g’omusuubuzi Katumwa agali e Zzana.

Maama Yasmin agamba nti yalaba muwala we ng’ali ne Katumwa mu mmotoka kwe kumusindikira obubaka ku ssimu okukomyawo muwala we, ekintu ekyamulemye.

Poliisi ye Zzana bwe yagaanye okumuyamba, maama yaddukidde ku Poliisi y’e Katwe okuyambibwa ku nsonga z’omwana we era amangu ddala Katumwa akwattiddwa abitebye.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Katumwa akwattiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

Katumwa yasunsuddwa okuvuganya ng’omubaka wa Palamenti mu Monicipalite y’e Nansana.

Kinnajjukirwa nti mu 2015, Katumwa yakwattibwa ku misango gy’okusobya ku mwana wa P7 myaka 13 era omwana yali agamba nti Katumwa yamuwa ssente shs 20,000 namutwala mu Loogi ya Silda Guest House e Zzana.

Katumwa yegaana omusango era n’okutuusa olunnaku olwaleero, omusango gwazikira.

Wabula abamu ku batuuze b’e Zzana bagamba nti Katumwa abadde ayagala omwana wadde abadde ekyali muto ku myaka 16 era okukwatibwa bagamba nti ye ssaawa okufuna amazima n’obwenkanya.