Kkooti enkulu mu Kampala egobye omusango ku bwannanyini bw’ekibiina kya NUP.

Ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa National Unity Platform (NUP) era eyali Pulezidenti wa NURP Moses Nkonge Kibalama nakwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine obukulembeze, nga Pulezidenti wa NUP.

Wabula abamu ku bammemba omuli Basile Difas ne Hassan Twaha baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala nga bavunaana Kibalama, Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abalala olw’okukyusa ekibiina kyabwe nga tewali kubebuzaako.

Mu kusooka, Kibalama yategeeza kkooti nti okukyusa ekibiina kyakolebwa mu mateeka kyokka oluvannyuma ne yeefuula nti bannamateeka ba Kyagulanyi Ssentamu baamuwabya era byonna ebyakolebwa, tebyali mateeka.

Enkya ya leero, omulamuzi Musa Ssekaana agobye omusango, ekiwadde bannakibiina kya NUP essanyu ssaako n’okusagambiza mu ggwanga lyonna.

Omulamuzi aliko ensimbi zalagidde abatwala omusango mu kkooti okusasula, ezitamanyiddwa mu kiseera kino.