Bannakibiina kya Forum for Democratic Change- FDC bakwasizza akakiiko k’ebyokulonda emikono, egiwagira omuntu waabwe Patrick Oboi Amuriat okulemberamu ekibiina ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021.

Okusinzira ku sseemateeka wa Uganda, omuntu yenna okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga, alina okufuna emikono 3 bya 4 ku disitulikiti eziri mu Uganda era mu kiseera kino, omuntu yenna alina okunoonya emikono 100 okuva mu disitulikiti 98 kwezo 146 eziri mu ggwanga.

Enkya ya leero, ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC Toterebuka Bamwenda agambye nti bafunye emikono gyona egyetagisa, Amuriat okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe e Najanankumbi, Toterebuka agamba nti FDC yetegese bulungi nnyo, okusimbawo omuntu waabwe n’okutwala obuyinza.

Eddoboozi lya Toterebuka

Roland Kaginda
Roland Kaginda

Ate omukwanagana wa FDC mu kiseera kino eky’okunoonya obuyinza Roland Kaginda alabudde abantu bonna abali ku ludda oluvuganya okwegatta mu kiseera kino okufuna enkyukakyuka okusinga okudda mu kwevuganya.

Eddoboozi lya Kaginda