Bya Zainab Ali

Poliisi yetondedde Obwakabaka olw’okukuba omukka ogubalagala mu mukolo gw’Ekika ky’Embogo e Mugulu Ssingo ku lunnaku Olwomukaaga nga 17, October, 2020.
Avunaanyizibwa ku by’obufuzi n’omuntu wa bulijjo Asan Kasingye yakulembeddemu ekibinja ekisisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange.


Basabye Obwakabaka bubasonyiwe kwebyo ebyaliwo era basuubizza okubonereza omusirikale eyaduumira ekikolwa ky’okukuba omukka ogubalagala mu bantu abaali bakungaanye okwebaza Katonda olw’obuweereza bw’Omutaka Kayiira Gajuule bweyamala nga yemukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka.


Katikkiro alaze obwennyamivu olw’ebikolwa bya Poliisi ebityoboola eddembe ly’abantu ebyeyongedde ensangi zino. Asabye abasirikale abeetaba mu kikolwa kino babonerezebwe.