Bya Nalule Aminah
Kyaddaki Kkampuni ya Nnalongo Estates ewadde Gavumenti yiika 2 ku ttaka lya centenary park okuyisaawo oluguudo lwa Kampala Fly Over, olw’omulembe olugenda okuyita waggulu.
Yiika 2 eziwereddwayo zigiddwa ku Yiika 4 n’obutundu 7, ku liizi ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) gye kyawa Kkampuni ya Nnalongo Estates.

Okusinzira ku ssenkulu w’ekitongole ki KCCA Dorothy Kisaka, oluvanyuma lw’enteseganya, Nnalongo Estates ekkirizza okubaddiza yiika 2 okuzikwasa ekitongole ekikola enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority okuyisaako oluguudo era omulimu gugenda kutandikirawo.
Kisaka One

Ate Nnalongo Sarah Kizito, nannyini kutandikawo Kkampuni ya Nnalongo Estates asuubiza nti wadde yakkiriza okuwaayo yiika 2 akyalina okulwana, okulemesa Gavumenti okutwala yiika 2 n’obutundu 7 zasigazza mu kiseera kino era ensonga zigenda mu kkooti.
Nnalongo Kizito One
Kinnajjukirwa nti wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Sarah Kizito ne KCCA. Kigambibwa KCCA yasaba dda okwedizza ettaka lyonna yiika 4 n’obutundu 7 olwa Sarah Kizito okulemwa okuteeka mu nkola ebyakanyizibwako omuli okuteekawo ekifo ky’okuwumuliramu n’emmere eri ku mutindo gw’ensi yonna, ekyavaako okusika omuguwa.