Omuyimbi Nina Roz y’omu ku bakyala abasanyufu mu kiseera kino olwa bannayuganda okweyongera okwagala ennyimba ze.
Nina Roz ku lunnaku Olwokutaano, yayanjudde bba Polodyusa, omuyimbi Daddy Andre mu bazadde, okulaga nti afunye omusajja omutuufu ku mutima gwe.

Ng’omukyala omulala yenna, Nina Roz alaze nti ebintu bitambula bulungi mu mukwano ne mu kisaawe ky’okuyimba.

Nina asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo vidiyo nga waliwo omuwagizi we akuba ddansi ku luyimba lwe, ekintu ekimuwadde essanyu.

Mu vidiyo, omuwala akubye ddansi mu ngeri ekyamula buli muntu wakati mu kunyeenya ekiwato era Nina mu ngeri y’okusiima omuwala agambye nti, “Onkyamulanyo ku simu every time wen yo callin, Wild , humble and free is how we roll dawg“.

Vidiyo