Omuyimbi Fik Fameica alaze nti essaawa yonna agenda kulaga ensi omukyala omutuufu ali ku mutima gwe wadde waliwo ebigambibwa nti ali mu laavu ne muyimbi munne Lydia Jazmine.

Wadde byogerwa nti Fik ne Jazmine tewali kubusabuusa kwonna buli omu ayagala munne, tebannaba kuvaayo okulaga ensi ekyama wakati waabwe.


Mu Uganda, abayimbi begumbulidde okuyimba ebintu ebikwata ku bulamu bwabwe ku nsonga z’omukwano.
Fik alina oluyimba olupya ‘Buligita’ nga lwa mukwano era yabaddeko omukyala gwe yabadde asaba omukwano.

Mu luyimba, Fik alaga nti wadde ali mu laavu akooye ebyenkukutu era agamba nti, “Go down low tuzine bukutu me and you for life in a makutu nze njagala nkuwasa nkooye ebyenkukutu“.

Olw’ebigambo bya Fik, abamu ku bawagizi bagamba nti kirabika yabadde asaba Jazmine omukwano okuva mu byankukutu nga Nina Roz ne Daddy Andre.

Oluyimba