Nga wasigadde ennaku 6 zokka, akakiiko k’ebyokulonda okusunsula abagenda okwesimbawo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino nate abantu 4 bokka bebakafuna Satifiketi, eraga nti baafunye emikono egyetaagisa okwesimbawo.

Okusinzira ku sseemateeka wa Uganda, omuntu yenna okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga, alina okufuna emikono 100, 100 okuva mu disitulikiti 3 bya 4 egy’abantu, ababasemba okwesimbawo nga mu kiseera kino, ze disitulikiti 98.

Aba 4 abalinze okusunsulwamu kuliko ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, Mwesigye Fred, Tumukunde Henry Kakurugu n’omukyala Kalembe Nancy Linda nga bonna bayindipendenti.

Mu nnaku 6 zokka, akakiiko k’ebyokulonda kalina abantu abasukka mu 18 okwekeneenya emikono gyabwe oba bagwanidde okwesimbawo mu kulonda okubindabinda.

Okusinzira ku mwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya, okwekeneenya emikono kukyagenda maaso era agumizza abali mu kutya nti abantu baabwe bayinza okulekebwa ebbali.

Bukenya One Final

Mungeri y’emu agambye nti mu sseemateeka wa Uganda, buli muntu yenna waddembe okutwala emikono mu nnaku zayagaliddeko kyokka okwekeneenya emikono, kwetaaga ennaku eziwerako.

Akakiiko, kakusunsula abeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga sabiti ejja nga 2 ne 3 kyokka abamu kw’abo abeesunga okwesimbawo nga tebannaba kakasibwa kuliko Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert, Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat, owa DP Norbert Mao, Alliance for National Transformation Mugisha Muntu ssaako n’abalala.