Kyaddaki Famire y’omugenzi Pasita Yiga Augustine Abizaayo abadde akulira ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala etudde bukubirire okusala amagezi ku ngeri y’okuteeka mu nkola ekiraamo.

Pasita Yiga afudde mu kiro ekikesezza olwaleero mu ddwaaliro e Nsambya era famire etandiise entekateeka z’okuziika.

Wabula okusinzira ku Bamemba mu Kkanisa e Kawaala, Pasita Yiga yabategeeza nti bw’aliba afudde, balina okumuziika oluvanyuma lw’ennaku 5.

Mungeri y’emu bagambye nti Yiga yalaama nti bw’aliba afudde, balina okumuziika okumpi ne nnyina eyaziikibwa mu kibangirizi kye kkanisa ya Revival Christian Kawaala.

Bamemba bagamba nti wadde ekiraamo kya Yiga tekiri mu buwandiike, balina okukiteeka mu nkola n’okukiwa ekitiibwa.