Oluvanyuma lwa Pasita Yiga Augustine Abizaayo abadde akulembera ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, nate ebigambo bitandiise okuvaayo okulaga nti omugenzi abadde ayagala nnyo ensonga z’omukwano.
Pasita Yiga yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya ku myaka 44 era wakuziikibwa ku Ssande nga 1, November, 2020 e Kawaala ku Kkanisa.
Wabula omuyimbi Maggie Kayima Nabbi Omukazzi avuddeyo mu lwatu era akkirizza nti Pasita Yiga yali bba okumala emyaka 8.

Maggie agamba nti Pasita Yiga yali mukwano gwe mu 2008 kyokka mu 2009 yamusaba omukwano wakati mu kutumbula talenti ye ey’okuyimba.
Agamba nti mu myaka 8 omusajja yamulaga omukwano, ng’amuwa buli kintu kyokka oluvanyuma lw’okwawukana, tannaddamu kufuna musajja alina birungo nga by’omugenzi Yiga ate naye afudde tazzeemu kufuna mukyala ali nga Maggie.

Eddoboozi lya Maggie