Omuyimbi Ronald Mayinja alaze lwaki Uganda ekyetaaga Yoweri Museveni okusigala ng’akulembera eggwanga lino.
Mayinja, eyali yegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba eziraga embeera embi eri mu ggwanga omuli Bunkenke, Bizeemu, Africa, Ensi yaffe n’endala, agamba nti Museveni ye musajja omutuufu okusigala ng’akutte enkasi, okulembera eggwanga lino.
Gye buvuddeko yakyalako ku kitebe kya NUP e Kamwokya, oluvanyuma lw’okukyalirako omukulembeze w’eggwanga, kwe kutegeeza nti Museveni, ye ssaawa okumuggya mu ntebe, okutaasa Uganda okusanawo.

Mayinja, yasaba Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, okuyamba okutaasa eggwanga.
Mu kiseera kino, Mayinja agamba nti kati Mukulu Museveni ye muntu omutuufu okusigala ng’akulembera eggwanga lino.

Mu luyimba lw’afulumizza, agambye nti wadde bannayuganda betaaga enkyukakyuka, tebannafuna muntu mutuufu, ayinza kudda mu bigere bya Museveni.
Mungeri y’emu agambye nti wadde waliwo abagamba nti Museveni musajja mubi nnyo, balimba kuba mukulu Museveni akoze ebirungi ebingi ebisinga ku bya Idi Amin Dada ne Apollo Milton Obote abaaliko abakulembeze b’eggwanga lino.
Mayinja Song Final