Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga akubagizizza ab’enju ya Pasita kati omugenzi Augustine Yiga Abizaayo abadde akulembera ekkanisa ya Revival Christian Center e Kawaala.
Ayogedde ku mugenzi ng’abadde amanyi Ekika kye, awagira emirimu gy’Obwakabaka era nga yawa n’ettoffaali, okuyambako mu kuzza Buganda ku ntikko.

Katikkiro akubirizza abasumba okomya okwerangira ebisongovu eri abagoberezi baabwe.
Mungeri y’emu agambye nti, ” Singa Paasita Yiga yenyooma oba singa yali yeekubagiza, teyandisobodde kutuuka kwebyo byeyatuukako. Era mu ngeri eyo byeyasobola okukola bibeere essomo eri fenna nti bwomalirira era Katonda nomwekwata osobola okutuuka ku birungi nkumu”.