Okusika omuguwa kweyongedde mu famire y’omugenzi Pasita Yiga Augustine Abizaayo abadde akulira ekkanisa ya Revival Christian Church ku ngeri y’okutuukirizza ekiraamo.

Pasita Yiga yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya ku Mmande ekiro era okusinzira ku ntekateeka, wakuziikibwa akawungeezi ka Ssande e Kawaala ku kkanisa ye.

Wabula okusinzira ku Bafamire, mu kiraamo Pasita Yiga yasaba ebintu eby’enjawulo era bakola kyonna ekisoboka okubiteeka mu nkola.

Mu kiraamo, Yiga yagamba nti balina okumuziika nga wayiseewo ennaku 5, balina okumuziika okumpi ne nnyina eyaziikibwa mu kibangirizi kye kkanisa ya Revival Christian Kawaala, balina okutwala omulambo gwe mu kkanisa ekiro kiramba.

Mungeri y’emu yasaba okumuzimbira ennyumba mu kifo webagenda okumuziika, okuteekamu Ttiivi (TV), okusaako ABS TV nga tevaano 24/7 n’abantu mu kkanisa ye okumusabira okumala omwezi mulamba.

Agava e Kawaala galaga nti Famire ekola kyonna ekisoboka okutuukiriza ekiraamo kya Pasita Yiga.